Matayo 9,1-8:

Awo Yesu n'asaabala mu lyato, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe. Awo ne bamuleetera omulwadde eyali akoozimbye, ng'agalamizibbwa ku kitanda; naye Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
Kale, laba, abawandiisi abalala ne boogera mu myoyo gyabwe nti, “Ono avvoola Katonda.”
Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba nti, “Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe? Kubanga ekyangu kiruwa, okugamba nti, ‘Ebibi byo bikusonyiyiddwa,’ oba okugamba nti, ‘Golokoka otambule?’ Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi,” n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.”
N'ayimirira, n'addayo ewuwe. 8Naye ebibiina bwe byalaba ne bitya, ne bigulumiza Katonda, eyawa abantu obuyinza obwenkanidde awo.

Wano ku kubuulira kw'Oluhungary

**********

Makko 2,17:

Awo Yesu bwe yakiwulira n'abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

***********

Makko 7,24-30:

Awo Yesu n'avaayo n'agenda mu bitundu bye Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba, n'atayagala muntu kutegeera, naye ne kitasoboka.Naye amangwago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye. Omukazi yali Muyonaani, eggwanga lye Musulofoyiniiki. N'amwegayirira okugoba dayimooni ku muwala we. Yesu n'agamba omukazi nti, “Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa.”
Naye omukazi n'amuddamu nti, “Weewaawo, Mukama wange: n'embwa ziriira wansi w'emmeeza obukunkumuka bw'abaana.”

Yesu n'amugamba nti, “Olw'ekigambo ekyo, weddireyo; dayimooni avudde ku muwala wo.”

N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko.

Wano waliwo okubuulira mu Luganda

**********

Yokaana 4,46 - 54:

Awo n'ajja nate e Kaana eky'e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu. Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa. Awo Yesu n'amugamba nti, “Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono.Omukungu n'amugamba nti, “
Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.”
Yesu n'amugamba nti, “Genda; omwana wo mulamu.”

Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda. Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti, “Omwana we mulamu.”
Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti, “Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.”
Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti, “Omwana wo mulamu;” ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna. Kano ke kabonero ak'okubiri Yesu ke yakola ng'akomyewo e Buyudaaya okuva e Ggaliraaya.

Wano okubuulira mu lulimi Oluswayiri

**********

Yokaana 9,1-7:

Awo Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti, Ku bano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.”
Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe.Engoye ze ne zaakaayakana ne zitukula nnyo; so nga tewali mwozi ku nsi ayinza okuzitukuza bw'atyo. Awo Eriya ne Musa ne babalabikira; era baali boogera ne Yesu. Peetero n'addamu, n'agamba Yesu nti, “Labbi, kye kirungi ffe okubeera wano; kale tusiisire ensiisira ssatu; emu yiyo, n'emu ya Musa, n'emu ya Eriya.”
Kubanga yali tamanyi ky'anaddamu; kubanga baali battidde nnyo.
Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.”
 
 

***********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono