Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?”Awo Yesu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe, n'agamba nti, “Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka ne mufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu gguluKale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu. Na buli alisembeza omwana omuto omu ng'ono mu linnya lyange ng'asembezezza nze.”
 
 “Naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja. Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza! Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko, okusuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi. Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala; kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi. Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu. Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.”
 
“Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n'agenda ku nsozi, n'anoonya eyo ebuzeeko? Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. Bwe kityo, si kigendererwa kya Kitange ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.”
 
Muganda wo bw'akukola obubi, genda omubuulirire ggwe naye mwekka; bw'akuwulira, ng'ofunye muganda wo. Naye bw'atakuwulira, twala omuntu omu omulala oba babiri, era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba abasatu buli kigambo kikakasibwa.Era bw'agaana okuwulira abo, buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
 
Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu, era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu. Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.

 

Wano okubuulira mu lulimi Oluswayiri

**********

Matayo 13, 13.16:

Kyenva njogera nabo mu ngero; kubanga batunula, naye tebalaba, bawuliriza, naye tebawulira, era tebategeera...

‘Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira.’”

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

n’Olufaransa

 

 

***********

Yokana 3,1-10:

Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, omufuzi mu Bayudaaya.Omusajja oyo n'ajja eri Yesu ekiro, n'amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti Oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula nga Katonda ali naye.”
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”

Nikoodemo n'amugamba nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina n'azaalibwa omulundi ogwokubiri?”
Yesu n'addamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo.Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri. 8Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kwayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda; bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.”
Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Ggwe Omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo?..

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

**********

Yokaana 6,30-35:

Awo ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? Okola mulimu ki? Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu.”
Awo Yesu n'abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu.Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.”
Awo ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo.”
Yesu n'abagamba nti, “Nze mmere ey'obulamu; ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono.”

 

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

 

***********

 

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono