Matayo 10,34-39:

“Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala. Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we; abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye. Ayagala kitaawe oba nnyina okubasinza nze, tansaanira; ayagala mutabani oba muwala we okubasinza nze, tansaanira. N'oyo atakwata musalaba gwe n'angoberera tansaanira.Alaba obulamu bwe alibubuza; n'oyo abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.”

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

**********

 

Matayo 11,16-19:

Naye emirembe gino nnaagifaananya ki? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe, nga bagamba nti, ‘Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti, ‘Aliko dayimooni Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti, ‘Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi!’ Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa byago.”

 

Wano waliwo okubuulira mu Luviyetnam

**********

Makko 15,1-5:

Awo amangwago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato. Awo Piraato n'amubuuza nti, “ Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti, “ Kyoyogedde kye kyo.” Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi. 4Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti, “ Toyanukula n'akatono? Laba ebigambo bingi bye bakuloopa.” Naye Yesu n'ataddamu nate kigambo; Piraato n'okwewuunya ne yeewuunya.

Wano waliwo okubuulira mu Luhungary

**********

 

Lukka 11,15-21:

Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni ng'akozesa obuyinza bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.”
N'abalala, ne bamwagaza akabonero akava mu ggulu, nga bamukema.Naye ye, bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti, “ Buli bwakabaka bwonna bwe bwawukanamu bwo bwokka buzikirira; n'ennyumba bw'eyawukanamu ennyumba eyo egwa. Ne Setaani bw'ayawukanamu ye yekka, obwakabaka bwe buliyimirirawo butya? Kubanga mugamba nti ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli. Era oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Bwe batyo kye baliva baba abalamuzi bammwe. Naye bwe mba ngobesa dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde.Omuntu ow'amaanyi ng'alina eby'okulwanyisa bw'akuuma oluggya lwe, ebintu bye bibeera mirembe:

Wano waliwo okubuulira mu lulimi Olusipeyini

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono