Matayo 6,7-13:

Nammwe bwe musabanga, temudiŋŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola; kubanga balowooza nga banaawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi. Kale, temufaanananga nga bo, kubanga Kitammwe amanyi bye mwetaaga nga temunnaba kumusaba.Kale, musabenga bwe muti, nti, “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu. Otuwe leero emmere yaffe eya leero. Otusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatwewolako.Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole mu bibi. [Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, bibyo, emirembe n'emirembe, Amiina.”]

 

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono