Matayo 18,20:

Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe

Okubuulira mu Lugirimaani
+ n’Olufaransa

***********

Matayo 28,1-10:

Awo olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olwolubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu omulala ne bagenda okulaba entaana. Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja n'aliggyawo, era n'alituulako. Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira.ra entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde. Naye malayika n'agamba abakazi nti, “Mmwe temutya; kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa. Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo we yagalamizibwa.Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; eyo gye mulimulabira, laba, mbabuulidde.”

Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa naye nga balina essanyu lingi, ne badduka okubuulira abayigirizwa be. Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti, “Mirembe.”

Ne bajja ne bakwata ku bigere bye, ne bamusinza. Awo Yesu n'abagamba nti, “Temutya, mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira.”

Okubuulira mu Lufalansa oba mu Lugirimaani

 

*********

Lukka 24,13-35:

Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga Baali banyumya bokka na bokka ebyo byonna ebibaddewo. Awo olwatuuka baali nga banyumya era nga beebuuzaganya, Yesu yennyini n'abasemberera, n'atambula wamu nabo.

Naye amaaso gaabwe ne gaziyizibwa baleme okumutegeera. N'abagamba nti, “ Bigambo ki ebyo bye mwebuuzaganya nga mutambula?” Ne bayimirira nga bawootedde. Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti, “ Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino?”

N'ababuuza nti, “ Bigambo ki ebyo?”

Ne bamugamba nti, “ Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga mu maaso ga Katonda ne mu maaso g'abantu bonna: ne bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okumusalira omusango ogw'okumutta, ne bamukomerera. Naye ffe twali tusuubira nti ye yali ow'okununula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo. Era abakazi abamu ab'ewaffe batuwuniikirizza, abaakedde okugenda ku ntaana; bwe bataasanzeyo mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti balabye okwolesebwa kwa bamalayika abagambye nti mulamu. N'abamu ku abo abaabadde naffe bagenze ku ntaana, ne basanga nga biri ng'abakazi bwe bagambye, kyokka ye tebaamulabye.”

Kale ye n'abagamba nti, “ Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima era abalwawo okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga; tekyagwanira Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo byonna, alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”

N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikwako. Ne basembera kumpi n'embuga gye baali bagenda: ye n'aba ng'abayisa okugenda mu maaso. Ne bamuwaliriza nga bagamba nti, “Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano.”

N'ayingira okutuula nabo. 30Awo olwatuuka bwe yali atudde nabo ku mmere, n'atoola omugaati n'agwebaza, n'agumenyamu n'abawa. Amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; naye n'ababulako nga tebakyamulaba. Ne beebuuzaganya nti, “ Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa?”

Ne basituka mu kiseera ekyo ne baddayo e Yerusaalemi, ne basanga bali ekkumi n'omu, n'abo be baali nabo, nga bakuŋŋaanye nga bagamba nti, “ Mazima Mukama waffe azuukidde era alabikidde Simooni.”
Nabo ne babannyonnyola biri eby'omu kkubo, era ne bwe yategeerekese gyebali olw'okumenyamu omugaati.

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

************

Yokaana 21,1-14:

Oluvannyuma lw'ebyo Yesu ne yeeraga nate mu bayigirizwa be ku nnyanja ey'e Tiberiya; yabeeraga bw'ati: Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow'e Kaana eky'e Ggaliraaya, n'abaana ba Zebbedaayo, n'abayigirizwa ba Yesu abalala babiri bonna baali wamu. Simooni Peetero n'abagamba nti, “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu. Naye bwali bukya Yesu n'ayimirira ku ttale: naye abayigirizwa ne batamanya nga ye Yesu. Awo Yesu n'abagamba nti, “Abaana, mulina eky'okuliira?” Ne bamuddamu nti, “Tetulina. N'abagamba nti, “Musuule obutimba ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kubuwalula olw'ebyennyanja ebingi. Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetero nti, “ Ye Mukama waffe.”

Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja.Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri 200) nga bawalula obutimba obulimu ebyennyanja. Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati. Yesu n'abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.” Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira obutimba ku ttale, nga bujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu (153) naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, obutimba tebwakutuka. Yesu n'abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti, “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama waffe. Yesu n'ajja, n'addira omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo.Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng'amaze okuzuukira mu bafu.

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono