Makko 12, 28-34:

Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti, “
Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna?”

Yesu n'addamu nti, “ Ery'olubereberye lye lino nti, ‘Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu; era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.' Eryokubiri lye lino nti, ‘ Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.”
Omuwandiisi n'amugamba nti, “Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu. So tewali mulala wabula ye:n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.” Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti,
Toli wala obwakabaka bwa Katonda.”
Awo ne wataba muntu ayaŋŋaanga okumubuuza nate.

Wano okubuulira mu lulimi Olusipeyini

**********

 

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono