Matayo 25,31-46:

“Naye Omwana w'omuntu bw'alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye. Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibaawulamu ng'omusumba bw'ayawula endiga n'embuzi, endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono. Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti, ‘Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi; kubanga nnalina enjala ne mumpa eky'okulya, nnalina ennyonta ne munnywesa, nnali mugenyi ne munsuza; nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali musibe mu kkomera, ne mujja mundaba.’
Awo abatuukirivu balimuddamu nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala ne tukuliisa? Oba ng'olina ennyonta ne tukunywesa?
Era twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukusuza? Oba ng'oli bwereere ne tukwambaza? Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera, ne tujja tukulaba?’ Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze. Awo alibagamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be kubanga nnalina enjala, temwampa kya kulya; nnalina ennyonta, temwannywesa, nnali mugenyi, temwansuza, nnali bwereere, temwannyambaza, mulwadde, ne mu kkomera, temwannambula.’ Awo nabo baliddamu, nga bagamba nti, ‘Mukama waffe, twakulaba ddi ng'olina enjala, oba ng'olina ennyonta, oba mugenyi, oba bwereere, oba mulwadde, oba mu kkomera, ne tutakuyamba?’ Awo alibaddamu, ng'agamba nti, ‘Mazima mbagamba nti Nga bwe mutaakikolera omu ku abo abasinga obuto, temwakikolera nze.’ Olwo abo baligenda ne baweebwa ekibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”

Wano okubuulira mu lulimi Olugirimaani

********

Yokaana 8,3-11:

Abawandiisi n'Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe bakutte ng'ayenda; ne bamussa wakati, 4ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza. Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo. Kale ggwe oyogera otya ku ye?” Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka. Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.” 8N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka. 9Nabo bwe baawulira ekigambo ekyo ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero; Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati. Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti, “Omukyala, bazze wa? Tewali asaze kukusinga?” Naye n'agamba nti, “Mpaawo muntu, Mukama wange.” Yesu n'agamba nti, “Nange sisala kukusinga, genda; okuva leero toyonoonanga lwa kubiri.”

Wano okubuulira mu lulimi Olugirimaani

 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono