Matayo 21,1-11:

Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baasembera okumpi ne Yerusaalemi, ne batuuka e Besufaage, ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu n'atuma abayigirizwa babiri n'abagamba nti, “Mugende mu mbuga ebali mu maaso, amangu ago munaalaba endogoyi esibiddwa, nga eri n'omwana gwayo; muzisumulule, muzindeetere. 3Naye omuntu bw'anaabagamba ekigambo, munaagamba nti, ‘Mukama waffe ye azaagala;’ naye anaaziweereza mangu ago.”
Kino kyabaawo, ekigambo kituukirire nnabbi kye yayogera, ng'agamba nti, "Mubuulire muwala wa Sayuuni nti, Laba, Kabaka wo ajja gy'oli.
Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi,Era yeebagadde n'akayana omwana gw'endogoyi.”
Abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira, 7ne baleeta endogoyi, n'omwana gwayo, ne bazissaako engoye zaabwe; Yesu n'azituulako. Abantu bangi ab'omu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne batema amatabi ku miti, ne bagaaliira mu kkubo. Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava emabega, ne byogerera waggulu, ne bigamba nti, “Ozaana eri omwana wa Dawudi! Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama! Ozaana waggulu mu ggulu!” Awo bwe yayingira mu Yerusaalemi, ekibuga kyonna ne kikankanyizibwa nga abakirimu babuuza nti, “Ani ono?”
Ebibiina ne bigamba nti, “Ono ye nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya.”
 
 
*********
 
 
Naye ku lunaku olw'enkomerero, era olusingira ddala obukulu ku mbaga, Yesu n'ayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti, “Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe. Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.”
Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
 
 

********

Yokaana 11, 1.3.17-27. 38b-46.53:

Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali;....Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti, “Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde.”...

Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana. Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano; Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwa mwannyinaabwe. Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju. Awo Maliza n'agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde. Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa.”
Yesu n'amugamba nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira”
Maliza n'amugamba nti, “Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero.”
Yesu n'amugamba nti, “Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu: na buli muntu mulamu akkiriza nze talifa emirembe n'emirembe. Okkiriza ekyo?”

Maliza n'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange: nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”....

Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu. Yesu n'agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti, “Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.”
Yesu n'amugamba nti, “Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”
Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti, “Kitange, nkwebaza kubanga wampulira.Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma.”
Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti, “Lazaalo, fuluma ojje.”
Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mbugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti, “Mumusumulule, mumuleke agende.”
Awo bangi ku Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba Yesu ky'akoze, ne bamukkiriza.Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze....
Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta.
 

 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono