Makko 4,26-34:

N'agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda buli ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka; ne yeebaka n'agolokoka ekiro n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, ye nga tamanyi bw'emeruse.Ensi ebala yokka, okusooka kalagala, ate kirimba, ate ŋŋaano enkulu mu kirimba. 29Naye emmere bw'eyengera, amangwago assaako ekiwabyo, kubanga okukungula kutuuse.
N'agamba nti, “Kiki kye tunaageraageranya n'obwakabaka bwa Katonda? Oba tukozesa lugero ki okubunnyonnyola? Bufaanana ng'akaweke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu ttaka, newakubadde nga ke katono okukira ensigo zonna eziri mu nsi, naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene; ennyonyi ez'omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.” N'abagamba ekigambo mu ngero nnyingi ng'ezo, nga bwe bayinza okukiwulira; 34teyayogera nabo awatali lugero, naye bwe yaba nga yekka n'abayigirizwa be n'abannyonnyola byonna.

 

Wano waliwo okubuulira mu Luganda

********

Lukka 9,51-62:

Awo olwatuuka ennaku ze ez'okutwalibwa mu ggulu bwe zaali zinaatera okutuuka, n'asimbira ddala amaaso ge okugenda e Yerusaalemi, n'atuma ababaka bamukulemberemu; ne bagenda ne bayingira mu mbuga y'Abasamaliya, okumutegekera.Ne batamusembeza kubanga amaaso ge gaali galaze kugenda Yerusaalemi. Abayigirizwa be Yakobo ne Yokaana bwe baalaba ne bagamba nti, “ Mukama waffe, oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu gubazikirize, nga Eriya bwe yakola?”
Naye n'akyuka n'abanenya n'ayogera nti, “ Temumanyi omwoyo bwe guli gwe mulina. Kubanga Omwana w'omuntu teyajja kuzikiriza bulamu bwa bantu, wabula okubulokola.” Awo ne bagenda mu mbuga endala.
 
Awo bwe baali nga bagenda mu kkubo, omuntu omu n'agamba Yesu nti, “ Nnaakugobereranga w'onoogendanga wonna.”
Yesu n'amugamba nti, “ Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.” N'agamba omulala nti, “ Ngoberera.” Naye oyo ye n'agamba nti, “
Mukama wange, ndeka mmale okugenda okuziika kitange.”
Naye Yesu n'amugamba nti,
Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda obuulire obwakabaka bwa Katonda.”
N'omulala n'agamba nti, “Mukama wange, nnaakugobereranga; naye sooka ondeke mmale okusiibula ab'omu nnyumba yange.”
Naye Yesu n'amugamba nti, “ Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n'atunula emabega asaanira obwakabaka bwa Katonda.”
 
 
**********
 
 
Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'agenda emitala w'ennyanja ey'e Ggaliraaya era eyitibwa ey'e Tiberiya. Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde. Yesu n'alinnya ku lusozi n'atuula eyo n'abayigirizwa be. N'Okuyitako, embaga y'Abayudaaya, kwali kunaatera okutuuka. Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?” 6Yayogera atyo kumukema, ng'amanyi yekka ky'agenda okukola. 7Firipo n'amuddamu nti, “Emmere egulibwa dinaali ebibiri, teebabune, buli muntu okulyako akatono.” 8Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti, 9“Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n'ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi?”
Yesu n'agamba nti, “Mutuuze abantu.” Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, baali ng'enkumi ttaano (5,000). Awo Yesu n'atoola emigaati ne yeebaza; n'agabira bali abaali abatudde; n'ebyennyanja n'akola bw'atyo. Bonna ne bafuna nga bwe baayagala. 12Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti “Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okusigala akantu.”
Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa. 14Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti, “Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.”
Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n'addayo nate ku lusozi yekka.
 
Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani
 
*********
 
Awo abo ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky'omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala okulaba Yesu.”
Firipo n'ajja n'abuulira Andereya; Andereya n'ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu. Yesu n'abaddamu, n'agamba nti, “Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe. Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi.
 
 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono