Awo Yesu bwe yalaba ebibiina by'abantu, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja w'ali; n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti:
 “Balina omukisa abaavu mu mwoyo, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
 Balina omukisa abali mu nnaku, kubanga abo balisanyusibwa.
 Balina omukisa abateefu, kubanga abo balisikira ensi.
 Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu, kubanga abo balikkusibwa.
 Balina omukisa ab'ekisa, kubanga abo balikwatirwa ekisa.
 Balina omukisa abalina omutima omulongoofu, kubanga abo baliraba Katonda.
 Balina omukisa abakolerera emirembe, kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
 Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.::"

 

Wano okubuulira mu lulimi Olugirimaani

********

Makko 1,40-45:

Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamiridde, ng'amugamba nti, “Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.”
N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'amugamba nti, “Njagala, longooka.” amangwago ebigenge bye ne bimuwonako n'alongooka. N'amukuutira nnyo, amangwago n'amusiibula ng'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyanjule eri kabona, era oweeyo olw'okulongooka kwo ekyo Musa kye yalagira okukakasa abantu nti olongoose.” Naye n'afuluma, n'agenda nga akyogerako, ng'asaasaanya amawulire ago, ne Yesu n'atayinza kuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye n'abeera mu bifo ebyekusifu; n'abantu ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.


Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

**********

 

Lukka 5,27-32:

Awo oluvannyuma lw'ebyo n'avaayo n'alaba omuwooza erinnya lye  Leevi Leevi era yayitibwa Matayo. ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti, “Yita nange.”

N'aleka byonna, n'asituka, n'ayita naye. Leevi n'afumbira Yesu embaga nnene mu nnyumba ye: era waaliwo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abalala abaali batudde nabo ku mmere.Abafalisaayo n'abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti, “

Kiki ekibaliisa n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibi?”

Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Abalamu tebeetaaga musawo; wabula abalwadde.

Nze sajja kuyita batuukirivu wabula abantu abalina ebibi okwenenya.”

 

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

*********

 

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono