Lukka 14,25-35:

Awo ebibiina binene byali bigenda ne Yesu; n'akyuka n'abagamba nti, “Omuntu bw'anajjanga gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wangeBuli ataasitulenga musalaba gwe ye, n'angoberera, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.Kubanga ani ku mmwe bw'aba ng'ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n'abalirira eby'emirimu gyayo, oba ng'alina eby'okugimala? Mpozzi bw'aba ng'amaze okuteekawo omusingi n'atasobola kugimaliriza, bonna abalaba batandika okumusekerera, 30nga bagamba nti Omuntu ono yatandika okuzimba n'atasobola kumaliriza. Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasooka kutuula n'ateesa, oba ng'ayinza n'abantu omutwalo ogumu (10,000), okwaŋŋanga oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri (20,000)? Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana. Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
Kale omunnyo mulungi: naye n'omunnyo bwe guggwaamu ensa, mulizzaamu ki? Tegusaanira nnimiro newakubadde olubungo, bagusuula bweru. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.”

 

Wano okubuulira mu lulimi Olugirimaani

********

Yokaana 17,11.b:

Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe.

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

 

********

 

 

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono