Matayo 12,38-42:

Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti, “Omuyigiriza, twagala tulabe akabonero akava gyoli.”

Naye Yesu, n'addamu n'abagamba nti, “Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona. Kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka. Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinzisa omusango; kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano. Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinzisa omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.”

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

*********

 
Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'effulungu, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera.Ne bawaliriza omuntu eyali ayita, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo, okugenda nabo okwetikka omusalaba gwe.Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, amakulu gaakyo, “Kifo kya kiwanga.”
Ne bamuwa omwenge ogutabuddwamu envumbo: naye ye n'atagukkiriza. Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga babikubirako obululu, buli muntu ky'anaatwala. Awo essaawa zaali ziri ssatu, ne bamukomerera. 26Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waggulu nti, “KABAKA w'Abayudaaya.”
Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono.
 
 
**********
 
 
Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze.Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuuza olukiiko, ne bagamba nti, “Tukole tutya? Kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi. Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe.”
Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi, 50so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula.”
Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo; so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana.
 
 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono