Lukka 23,33-49:

Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga, ne bamukomerera awo, na bali abaakola obubi, omu ku mukono ggwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. Awo Yesu n'agamba nti, “Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola.” Ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu. Abantu ne bayimirira awo nga bamutunuulira. Abakungu nabo ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala; yeerokole yekka, oba ng'oyo ye Kristo wa Katonda, omulonde we.” Abasserikale nabo ne bajja w'ali, ne bamuduulira, nga bamuwa omwenge omukaatuufu, nga bagamba nti, “Oba nga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wekka.” Ne wabaawo n'ebbaluwa waggulu we nti, “ONO YE KABAKA w'Abayudaaya.”
Omu ku abo abaakola obubi abaawanikibwa ku musalaba n'amuvuma ng'agamba nti, “Si ggwe Kristo? Weerokole wekka naffe otulokole.” Naye ow'okubiri n'addamu n'amunenya, n'agamba nti, “N'okutya totya Katonda, kubanga ggwe oli ku kibonerezo kye kimu naye? Era ffe twalangibwa nsonga; kubanga ebisaanidde bye twakola bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo kyonna ekitasaana.” N'agamba nti, “Yesu, onjijukiranga bw'olijjira mu kitiibwa ky'obwakabaka bwo.” Yesu n'amugamba nti, “Mazima nkugamba nti Leero onooba nange mu Lusuku lwa Katonda.”
Awo obudde bwali butuuse essaawa nga mukaaga, ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa mwenda, enjuba yali teyaka: n'eggigi ery'omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati. Awo Yesu n'ayogera n'eddoboozi ddene, n'agamba nti, “ Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ekyo, n'awaayo obulamu. Awo omwami omukulu w'ekitongole bwe yalaba ekibaddewo n'atendereza Katonda, ng'agamba nti, “ Mazima ono abadde muntu mutuukirivu.” N'ebibiina byonna ebyali bikuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu bifuba. Ne mikwano gye gyonna, n'abakazi abaava naye e Ggaliraaya, ne bayimirira wala nga balaba ebyo.
 
 

********

Yokana 8,1-11

Naye Yesu n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni. N'akeera mu makya n'ajja nate mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy'ali; n'atuula, n'abayigiriza. Abawandiisi n'Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe bakutte ng'ayenda; ne bamussa wakati, ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza. Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo. Kale ggwe oyogera otya ku ye?”
Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka. Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.”
N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka.
Nabo bwe baawulira ekigambo ekyo ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero; Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati. Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti, “Omukyala, bazze wa? Tewali asaze kukusinga?” Naye n'agamba nti, “Mpaawo muntu, Mukama wange.” Yesu n'agamba nti, “Nange sisala kukusinga, genda; okuva leero toyonoonanga lwa kubiri.”

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaann’Olupotugo

 

*********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono