Lukka 22,1-6:

Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa eyitibwa Okuyitako yali eneetera okutuuka. Bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamutta; kubanga baali batya abantu.
 
Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri N'agenda, n'ateesa ne bakabona abakulu, n'abaami ne ba sserikale nga bw'anaawaayo Yesu gyebali. Ne basanyuka, era ne balagaana okumuwa effeeza. N'akkiriza era n'anoonya ebbanga mw'anaamuweerayo gyebali awatali kibiina.

 

Wano okubuulira mu lulimi Olugirimaani

********

Lukka 22,47-53:

Yesu yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda, omu ku abo ekkumi n'ababiri (12), ng'abakulembedde, n'asemberera Yesu okumunywegera. Naye Yesu n'amugamba nti, “ Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?” N'abo be yali nabo bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti, “ Mukama waffe, tuteme n'ebitala?”
N'omu ku abo n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu kwe okwa ddyo. Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “ Koma ku ekyo kyokka.”
N'akoma ku kutu kwe n'amuwonya.
Yesu n'agamba bakabona abakulu, n'abaami b'omu Yeekaalu, n'abakadde, abajja okumukwata nti, “ Munjijiridde ng'omunyazi, nga mulina n'ebitala n'emiggo? Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu Yeekaalu, temwangololerako mukono gyammwe, naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza.”

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono