Matayo 9,35-37 + 10,1.5-10

Yesu n'ayitayita mu bibuga byonna, n'embuga zonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna.Naye bwe yalaba ebibiina, n'abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng'endiga ezitalina musumba.N'alyoka agamba abayigirizwa be nti, “Eby'okukungula bye bingi, naye abakozi be batono....

Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku myoyo emibi, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna....

Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri n'ababuulirira, ng'agamba nti, “Temugenda mu b'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya; 6naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri,Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti, ‘Obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.’ Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni; mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.Temutwala zaabu, newakubadde effeeza, newakubadde ebikomo mu nkoba zammwe; newakubadde ensawo ey'olugendo, newakubadde ekkanzu ebbiri, newakubadde engatto, newakubadde omuggo; kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa bye yeetaaga

Wano okubuulira mu lulimi Olugirimaani

 

 

Makko 3,31-35:

Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru.N'ekibiina kyali kitudde nga bamwetoolodde; ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo bali wabweru bagala okukulaba.”

N'abaddamu ng'agamba nti, “Ani mmange ne baganda bange be baani?”
Awo ne yeetoolooza amaaso ku baali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti, “ Laba mmange ne baganda bange! Kubanga buli muntu yenna akola Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.”

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

********

Lukka: 12,12-14:

Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti, “ Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; si kulwa nga nabo bakuyita, ne wabaawo okukusasula. Naye bw'ofumbanga embaga, oyitanga abaavu n'abalema n'abawenyera n'abazibe b'amaaso, era oliweebwa omukisa; kubanga tebalina kya kukusasula: Katonda alikusasulira mu kuzuukira kw'abatuukirivu.”

Wano waliwo okubuulira mu Luganda

***********

Lukka 17.11-19:

Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi, yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya. Awo bwe yayingira mu kyalo ekimu, abagenge kkumi (10) ne bamusisinkana, ne baayimirira walako ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “ Yesu, Mukama waffe, otusaasire.”
Bwe yabalaba n'abagamba nti, “Mugende mwerage eri bakabona.”
Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa. Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene; n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya. Yesu n'addamu n'agamba nti, “Ekkumi (10) bonna tebalongoosebbwa? Naye bali omwenda bali ludda wa? Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono?”
N'amugamba nti, “ Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.”

Wano waliwo okubuulira mu lulimi Olusipeyini

 

***********

Lukka 19,1-10:

Yesu n'ayingira mu kibuga Yeriko n'aba ng'akiyitamu. Kale, laba, waaliwo omusajja erinnya lye Zaakayo, eyali omukulu w'abawooza, era nga mugagga. N'asala amagezi okulaba Yesu bw'ali; n'atasobola olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yali mumpi. N'adduka n'abakulembera n'alinnya ku muti omusukomooli alabe Yesu: kubanga yali agenda kuyita mu kkubo eryo.
Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti, “ Zaakayo, kka mangu; kubanga leero kiŋŋwanidde okutuula mu nnyumba yo.”
N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka. Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza, nga bagamba nti, “
Ayingidde okusula omw'omuntu alina ebibi.”
Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti, “
Mukama wange, laba ekitundu ky'ebintu byange nkiwa abaavu; era oba nga waliwo omuntu yenna gwe nnalyazaamaanya ekintu kye, mmuliyira emirundi ena.”

Yesu n'amugamba nti, “ Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubanga naye mwana wa Ibulayimu. Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.”
 

 

**********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono