Matayo 20,1-16:

“Kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyakeera enkya okupakasa abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu. Bwe yamala okulagaana n'abalimi okubasasula eddinaali emu. Eddinaali emu yalinga empeera y'omupakasi ey'olunaku. olunaku, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu. 3N'afuluma ku ssaawa nga ssatu, n'alaba abalala nga bayimiridde mu katale nga tebaliiko kye bakola; nabo n'abagamba nti, Nammwe mugende mukole mu lusuku olw'emizabbibu, nange nnaabasasula ekinaabasanira.” Ne bagenda. N'afuluma nate essaawa nga ziri mukaaga, era ne ku ssaawa mwenda, n'akola bw'atyo. 6Era n'afuluma ku ssaawa nga ziri kkumi n'emu, n'asanga abalala nga bayimiridde; n'abagamba nti, “Kiki ekibayimiriza wano obudde okuziba nga temuliiko kye mukola?”
“Ne bamuddamu nti, ‘Kubanga tewali muntu eyatupakasizza.’ N'abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu lusuku olw'emizabbibu.’ 8Obudde bwe bwawungeera, nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba omusajja we alabirira abakozi nti, ‘Bayite abalimi, obawe empeera, ng'osookera ku b'oluvannyuma, okutuusa ku b'olubereberye.’ Abo abaapangisibwa ku ssaawa ekkumi n'emu bwe bajja, ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. Abo abaasooka okupangisibwa bwe bajja, ne balowooza nti banaaweebwa okusingawo; naye nabo ne baweebwa buli muntu eddinaali emu. Bwe baagiweebwa, ne beemulugunyiza nnannyini lusuku, nga bagamba nti, ‘Bano ab'oluvannyuma bakoledde essaawa emu yokka, naye n'obenkanya naffe, abaateganye okuva enkya nga n'essana litwokya?’
Naye ye n'addamu n'agamba omu ku abo nti, ‘Munnange, sikukoze bubi; tewalagaanye nange eddinaali emu?
14Twala eyiyo, ogende; njagala okuwa ono eyazze oluvannyuma nga bwe mpadde ggwe. Siyinza kukola byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya olw'obugabi bwange?’ Bwe batyo ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye, n'ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma.”

Wano okubuulira mu lulimi Olugirimaani

********

Makko 12, 38-44:

Awo mu kuyigiriza kwe n'abagamba nti, “Mwekuume abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu, n'okulamusibwa mu butale, n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga; 40abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene.”
Awo Yesu n'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula ensimbi mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi.Awo nnamwandu omu omwavu n'ajja, n'asuulamu ebitundu bibiri, ye kodulante. N'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti,
Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika: kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.”
 
 
***********
 
“Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, eyabeeranga bulijjo mu kwesiima ng'asanyuka: 20era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo, eyali awummusewummuse amabwa eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo, nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zikombereranga amabwa ge.
Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika n'assibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga naye n'afa, n'aziikibwa. Ng'ali mu kulumizibwa kungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Ibulayimu ng'ali wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye. N'ayogerera waggulu n'agamba nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, awozeewoze olulimi lwange; kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’ Naye Ibulayimu n'amugamba nti, ‘
Mwana wange, jjukira nga ggwe waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo yaweebwanga ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa.
Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gyetuli.’
N'agamba nti, ‘ Kale, nkwegayiridde, kitange, otume Lazaalo mu nnyumba ya kitange; kubanga nnina baganda bange bataano; abalabule baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa.’
Naye Ibulayimu n'agamba nti, ‘ Balina Musa ne bannabbi; bawulirenga abo.’N'agamba nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gyebali balyenenya.’
N'amugamba nti, ‘ Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.’”
 

 

***********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono