Matayo 21,16-21:

Okuva olwo, Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa. Awo Peetero n'atwala Yesu ku bbali, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti, “Nedda, Mukama wange! Ekyo tekirikubaako n'akatono.”
Yesu n'akyuka, n'agamba Peetero nti, “Dda emabega wange, Setaani! Oli nkonge gye ndi; kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.”

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

**********

 
Awo bakadde be baagendanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okuyitako. Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemi nga empisa y'embaga bwe yali: awo bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana oyo Yesu n'asigala mu Yerusaalemi, naye bakadde be ne batamanya: naye bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe: bwe bataamulaba ne baddayo e Yerusaalemi, nga bamunoonya. Awo olwatuuka bwe waayitawo ennaku ssatu ne bamusanga mu Yeekaalu, ng'atudde wakati mu bayigiriza, ng'abawuliriza, era ng'ababuuza: bonna abaamuwulira ne bawuniikirira olw'amagezi ge n'okuddamu kwe. Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti, “ Mwana wange, lwaki otukoze bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde.” N'abagamba nti, “ Mwannoonyeza ki? Temwamanya nga kiŋŋwanidde okubeera mu bigambo bya Kitange?” batategeera kigambo ekyo kye yabagamba.
N'aserengeta nabo n'ajja e Nazaaleesi, n'abagonderanga: nnyina ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonna mu mutima gwe.
Awo Yesu ne yeeyongerangako amagezi n'okukula, n'okuganja eri Katonda n'eri abantu
 
 
***********

 

Lukka 3,15.16.21-23:

Awo abantu bwe baali nga basuubira, era bonna nga balowooza mu mitima gyabwe nti oba oli awo Yokaana ye Kristo.Yokaana n'addamu n'agamba bonna nti, “
Mazima nze mbabatiza n'amazzi; naye ajja y'ansinga amaanyi, so nange sisaanira kusumulula buguwa bwa ngatto ze: ye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
...

Awo olwatuuka, abantu bonna bwe baali nga babatizibwa, ne Yesu bwe yamala okubatizibwa, bwe yasaba, eggulu ne libikkuka, Omwoyo Omutukuvu n'akka ku ye mu kifaananyi eky'omubiri ng'ejjiba, n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu nga ligamba nti, “ Ggwe mwana wange omwagalwa; nkusanyukira nnyo.”
Era Yesu yennyini, yatandika okuyigiriza, ng'aweza emyaka ng'asatu (30), era nga bwe yalowoozebwa nga ye mwana wa Yusufu, mwana wa Eri,..
 

 

***********

Lukka 4,14-22:

Awo Yesu n'akomawo e Ggaliraaya mu maanyi ag'Omwoyo: ettutumu lye ne ligenda nga libuna mu nsi zonna eziriraanyeewo.N'ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe bonna nga bamutendereza.
Yesu n'ajja e Nazaaleesi gye yakulira; ku lunaku olwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro nga bwe yali empisa ye, n'ayimirira okusoma.Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'alaba ekitundu awaawandiikibwa nti,  “Omwoyo gwa Mukama guli ku nze,
Kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi:
Antumye okutegeeza abanyage okuteebwa,
N'okuzibula abazibe b'amaaso,
Okuta abanyigirizibwa,
Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwakkirizibwa.” 
N'abikkako ekitabo, n'akiddiza omuweereza n'atuula; abantu bonna abaali mu kkuŋŋaaniro ne bamusimbako amaaso. N'atandika okubagamba nti, “Olwaleero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe.”
Bonna ne bamwogerako bulungi, era ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebivudde mu kamwa ke: ne bagamba nti, “ Ono si ye Mwana wa Yusufu?”
 

 

***********

Yokaana 5,24-29:

Ddala ddala mbagamba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu. Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda, n'abo abaliwulira baliba balamu. Kuba nga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye;Yera yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu.Temwewuunya ekyo; kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.”

Wano okubuulira mu lulimi Oluswayiri

*********

 

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono