Lukka 12,39-48:

Naye mutegeere kino, nga nnannyini nnyumba singa amanya ekiseera omubbi w'anajjira, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.Nammwe mweteeketeekenga: kubanga Omwana w'omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza.”
 
Peetero n'agamba nti, “ Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, nantiki olugeredde bonna?” Mukama waffe n'agamba nti, “ Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?
Alina omukisa omuddu oyo mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo. Mazima mbagamba ng'alimusigira byonna by'ali nabyo. Naye omuddu oyo bw'alyogera mu mutima gwe nti Mukama wange aludde okujja; n'atandika okukuba abaddu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira; 46kale mukama w'omuddu oyo alijja ku lunaku lw'atamulowoolezaako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abatakkiriza. N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, kyokka n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi; naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.”
 

 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono