Matayo 5,20-26:

Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga; naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango.’ naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, aba azizza omusango; n'oyo anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwa mu lukiiko, ate anaagambanga muganda nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro gwa Ggeyeena. Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'osinzira eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo ky'akwemulugunyiza, leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.Tabagananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera. Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukomekkereza okusasula n'eppeesa erisembayo.”
 
 
********
 
 
Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.”
 
 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono