Makko 15,16-37:

Awo abasserikale ne bamutwala munda mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo; ne bayita ekitongole kyonna okukuŋŋaana. Ne bamwambaza olugoye olw'effulungu ne baluka engule ey'amaggwa ne bagimutikkira; 18ne batandika okumulamusa nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” 19Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza. Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'effulungu, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera.
Ne bawaliriza omuntu eyali ayita, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo, okugenda nabo okwetikka omusalaba gwe. Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, amakulu gaakyo, “Kifo kya kiwanga.”
Ne bamuwa omwenge ogutabuddwamu envumbo: naye ye n'atagukkiriza. Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga babikubirako obululu, buli muntu ky'anaatwala. Awo essaawa zaali ziri ssatu, ne bamukomerera. Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waggulu nti, “KABAKA w'Abayudaaya.”
Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti, “N'abalirwa awamu n'abasobya.” Awo abaali bayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti, “So, ggwe amenya Yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu weerokole, ove ku musalaba.”
Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi nabo ne bagamba nti, “
Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka.
Kristo Kabaka wa Isiraeri ave kaakano ku musalaba, tulyoke tulabe tukkirize.” Ne bali abaakomererwa naye ne bamuvuma
Awo essaawa bwe zaali ziri mukaaga ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa ey'omwenda. Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Eloi, Eloi, lama sabakusaani?”
Amakulu gaakyo nti,
“Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?”
Awo abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laba, ayita Eriya.”
Awo ne wabaawo omu n'adduka, n'annyika ekyangwe mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti, “ Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula.”
Awo Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene n'awaayo obulamu.
 

 

***********

Yokana 6,60-69:

Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?”
Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyiza kino, n'abagamba nti, “Kino kibeesittaza? Kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye? Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza.”
Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali.
N'agamba nti, “Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.”
Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate. Awo Yesu n'agamba ekkumi n'ababiri (12) nti, “Era nammwe mwagala okugenda?”
Simooni Peetero n'amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo.Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.”
 
 

********

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono