Matayo 9,27-31:

Naye Yesu bwe yavaayo, abazibe b'amaaso babiri ne bamugoberera, nga boogerera waggulu nga bagamba nti, “Tusaasire, ggwe omwana wa Dawudi.”
Bwe yatuuka mu nju, abazibe b'amaaso ne bajja gy'ali; Yesu n'ababuuza nti, “Mukkirizza nga nnyinza okukola kino?”
Ne bamuddamu nti. “Weewaawo, Mukama waffe.”

N'alyoka akwata ku maaso gaabwe ng'agamba nti, “Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo.”

Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti, “Mulabe tewaba muntu n'omu amanya.”
Naye bo ne bafuluma, ne babunya ebigambo bya Yesu mu nsi eyo yonna.

 

Wano waliwo okubuulira mu lulimi Olusipeyini

********

Matayo 12,35-37:

Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi, n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi. Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango. Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinzisa omusango.”

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono

Wano waliwo okubuulira mu Luganda

**********

 

Matayo 15, 21-28:

Yesu n'avaayo, n'agenda ku njuyi z'e Ttuulo n'e Sidoni.Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava mu kitundu ekyo, n'ajja gy'ali n'ayogerera waggulu ng'agamba nti, “Onsaasire, Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni.”

Naye Yesu n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti, “Musiibule; kubanga ajja atuleekaanira.”
Yesu n'addamu n'agamba nti, “Saatumibwa walala wonna okuggyako eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.”

Naye omukazi n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti, “Mukama wange, nnyamba.”

Yesu n'addamu n'agamba nti, “Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'ogisuulira obubwa.”

Naye omukazi n'agamba nti, “Weewaawo, Mukama wange, naye n'obubwa bulya ku bukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.” Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti, “Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene! Kibeere gy'oli nga bw'oyagala.”
Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

*********