Mattayo 5,38-48:

“Mwawulira bwe baagambibwa nti ‘Eriiso ligattibwenga liiso, n'erinnyo ligattibwenga linnyo,’naye nange mbagamba mmwe nti Temuziyizanga mubi; naye omuntu bw'akukubanga ku luba olwa ddyo, omukyusizanga n'olwa kkono. Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibaawo kyo. Omuntu bw'akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri. Akusabanga omuwanga; omuntu bw'ayagalanga okumuwola, tomwegobangako.
Mwawulira bwe baagambibwa nti, ‘Oyagalanga munno, okyawanga omulabe wo;’  naye nange mbagamba mmwe nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya; mulyoke mubeerenga abaana bakitammwe ali mu ggulu; kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, era atonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu.Kubanga bwe munaayagalanga abo ababaagala, mulina mpeera ki? N'abawooza tebakola bwe batyo? Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, olwo kye mukoze okusinga abalala ki? N'ab'amawanga tebakola bwe batyo? Kale mmwe mubeerenga batuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.”

 

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

Wano waliwo okubuulira mu Luviyetnam

***********

Matayo 26,47-52:

Awo Yesu yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12), n'ajja ng'alina ekibiina ekinene ekirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu. Naye oyo eyalya mu Yesu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti, “Omuntu gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate.”
Amangwago Yuda n'ajja awali Yesu, n'agamba nti, “Mirembe, Labbi!” N'amunywegera nnyo. Yesu n'amugamba nti, “Munnange, kola ky'ojjiridde.” Awo ne bajja, ne bavumbagira Yesu ne bamukwata ne bamunyweza.Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu. Awo Yesu n'amugamba nti, “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo; kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.

Wano waliwo okubuulira mu Lugirimaani

**********

Lukka 6,27-32:

“Naye mbagamba mmwe abawulira nti: Mwagalenga abalabe bammwe, mukolenga bulungi ababakyawa,musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababavuma. Oyo akukubanga ku ttama omukyusizanga n'eddala; n'akuggyangako omunagiro gwo, n'ekkanzu togimugaananga. Buli akusabanga omuwanga; n'oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga nate. Era nga bwe mwagala abantu okubakolanga, nammwe mubakolenga bwe mutyo.Kale bwe mwagala abo ababaagala mmwe, mwebazibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibi baagala abo ababaagala.

Wano okubuulira mu lulimi Oluswayiri

**********

 

Okubuulira okulala ku mulamwa guno kujja kuyungibwa wano mu bbanga ttono